Amawulire

Abadde abba bodaboda mu kuziika akwatidwa .

Ivan Ssenabulya

January 26th, 2018

No comments

Bya Malik Fahad.

 

E  Kalisizo  wano mu Kyotera police eriko  omusajja gw’ewonyezza okuttibwa abatuuze nga ono bamulanga gwakubba bodaboda

Mubiru Ronald ow’emyaka 28 omutuuze we Kijabwemi  wano e Masaka  yawonye okutibwa abatuuze bwebamusanze nga aba bodaboda ku mukolo gw’okuziika.

Tutegeezeddwa nga ono bwalabiriza abantu nga bagenze e magombe ye naabagula bodaboda naavuga, kyoka  abantu abaabede okumpi nebakubye enduulu okukakana nga bamugobye olwo embooko netandika.

Twogedeko ne Yudaya Mugoya  akulira police yeeno naakakasa okukwatibw kw’ono.