Amawulire

Ababundabunda 600 okuva e Congo bayingidde Uganda

Ababundabunda 600 okuva e Congo bayingidde Uganda

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Nga okulwanagana wakati wamagye ga gavumenti nabayeekera ba m23 kukyagenda mu maaso ku muliraano mu Democratic Republic of Congo, abanoonyi booubudamu abasoba mu 600 beesozze Uganda olunaku lweggulu.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba ku bano 272 babadde tebaggyangako mu Uganda nga abalala beebo abaawulira nti ewaabwe wazzeyo akalembereza nebaddayo wabula mu kaseera mpaawo kaaga ate nebaddukayo olwemmundu ezzeemu okutokota.

Ekyambi ababnonyi boobubudamu abasoba mu 200 baazuliddwamu ekirwadde kya ssenyiga omukamnbwe oba Covid-19 .