Amawulire

Ababbi béssimu basindikibwa mu KKomera

Ababbi béssimu basindikibwa mu KKomera

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abasajja babiri basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira lwakubba kassimu ka mitwalo etaano.

Mawumbe David ne mune Ssentongo Drake basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku City Hall Valerian Tuhimbise abasomedde omusango gw’obubbi nebagwegaana.

Kati basindikiddwa mu kkomera e Luzira okutuusa July 28th 2022 lwe banadizibwa batandike okuwerenemba n’omusango.

Oludda oluwaabi lugamba nga July 6th 2022 e Ntinda mu Gombolola ye Nakawa wano mu Kampala ababiri bano babba a kassimu k’ekika kya Itel nga kabalirirwamu ensimbi za Uganda emitwalo 50,000.

Kigambibwa akasimu akabbibwa kaali ka Kisuze Jasper.