Amawulire

Ababbi bémmundu balumbye Baasi ya Link e Mityana

Ababbi bémmundu balumbye Baasi ya Link e Mityana

Ivan Ssenabulya

May 20th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Poliisi e Mityana etandise okunonyereza kubwa kkondo obwakoleddwa ku baabaze mu Bus ya Link, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mubende.

Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala Rachel Kawala, agambye nti bino bibadde mu lusaalu lwe Bamujugu ku nsalo ya disitulikiti ye Mityana ne Kassanda, mu kiro ekikesezza olwaleero.

Kawala agambye nti kuno kwabadde abasabaze abali mu 60, ng’abazigu abali mu 10 ababadde nemundu nebissi ebiralala babatadde ku bunkeneke ne babbako ensimbi enkalu, amasimu nebintu yabwe ebiralala ebyomuwendo.

Poliisi egamba nti okunonyereza kugenda mu maaso.