Amawulire

Ababbi basse omukuumi ku ssundiro lyamafuta e Jinja

Ababbi basse omukuumi ku ssundiro lyamafuta e Jinja

Ivan Ssenabulya

October 7th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Abazigu abatanaba kuterekeka, bakubye omukuumi ku ssundiro lyamafuta erya Stabex Petrol e Jinja nebamutta.

Obutemu buno bubaddewo, mu bubbi obukoleddwa ku ssundiro lyamafuta lino, ngabazigu bakuliise nensimbi ezitanaba kutegerekeka.

Omugenzi ye James Okabway, ngafudde atusibwa ku ddwaliro ekkulu e Jinja atenga Isaac Olupot naye mu bulumbaganyi buno abuse nebiwundu.

Ono bamukubye amasasi mu bulago neku kabina, era ali mu ddwaliro afuna bujanjabi.

Bano bombi bakuumi mu kitongole kya Security group Africa.

Kigambibwa nti ababbi bajidde mu mmotoka kika kya lukululana akwungeezi akeggulo, basoose kwefuula abagenda okuwummula.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kiira, James Mubi akaksizza obubbi nobutemu buno, obubadde nga bukya.

Agambye nti okunonyereza kugenda mu maaso era bagenda kweyambisa ebifananyi ebyakwatiddwa CCTV Cameras mu kifo kino.

Essundiro lyamfuta lino lisangibwa ku Milo-mbili ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga.