Amawulire

Ababba ebintu bya UMEME 13 bakwatibwa

Ababba ebintu bya UMEME 13 bakwatibwa

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2022

No comments

Bya Juliet Nalwooga,

Poliisi ezudde ebyuuma ebikola wire ezitambuza amasanyalaze ezisoba mu ttani 40 oluvannyuma lw’ekikwekweto ekikulembeddwamu abakessi mu bitundu bisatu eby’enjawulo mu Kampala.

Okusinziira ku Patrick Onyango, omwogezi wa poliisi mu Kampala Metropolitan, ebikwekweto bibadde mu bifo okuli, Social center scrap yard e Mengo, Kampala central division ne Nakitende scrap yard e Kisenyi.

Poliisi egamba yakakwata abantu 13 ku byekuusa ku bubbi bwe bintu bino.