Amawulire

Ababala abantu bakulya nga bavubi

Ali Mivule

May 20th, 2014

No comments

registration of bodaboda

Buli agenda okuwebwa omulimu gw’okubala abantu mu ggwanga wakufuna  emitwalo 20 buli lunaku.

Omukwanaganya w’enteekateeka eno mu ggwanga  Francis Mashate agamba abantu  8000 bebasubirwa  okuweebwa emirimu.

Mashate agamba buli omu era wakuwebwa ssente z’entambula, ekyemisana nga era okulabirira bano kwakumalawo obuwumbi 16.

Akulira ekitongole ekivunanyizibwa ku bunji bw’ebintu mu ggwanga ….agamba emitwalo gyino 20 si musaaala wabula zakuyamba ababala abantu okutambuza obulungi emirimu gyabwe.