Amawulire

Ababaka tebanakiriza by’akugula kasooli.

Ababaka tebanakiriza by’akugula kasooli.

Ivan Ssenabulya

August 2nd, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Ministry ekola ku by’obulimi yakasuubiza nga bwegenda okutandika okugula kasooli ku balimi ku nusu 500 buli kilo, abamu kubabaka ba parliament bagamba nti kuno kulimba , government eky’amukiriza.

Sabiiti eno ministry yagambye kituufu ebeeyi ya kasooli eri wansi, wabula nga kyebagenda okukola kw’ekutandika okugula kasooli ono abalimi baleme okufiirwa.

Kati twogedeko n’omubaka we Kapelebyong Julius Ochen nagamba nti kino kikoledwa mukupapa, naye nga tekisobola kutuukirira kubanga nemu budget y’omwaka guno ensimbi zino tezatekebwamu.