Amawulire

Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya batuuse dda mu benganda zaabwe

Ababaka Ssewanyana ne Ssegirinya batuuse dda mu benganda zaabwe

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Loodi meeya wa Kampala era nga ye munnamateeka wa babaka okuli Allan ssewanyana ne Muhamad ssegiriinya atubuulidde nti bakitegeddeko nti ababaka bano baatwaliddwa mu maka g’abenganda zaabwe akawungezi ak’eggulo oluvanyuma lw’okuyimbulwa kipayopayo okuva mu kkomera e kigo.

Lukwago atubuulidde nti bbo nga bannamateeka tebanayogerako na bantu baabwe, kyoka gebafuna okuva mu b’oluganda galaga nti bano ekiro ekikeeseza leero poliisi yabatutte mu maka ga b’oluganda lwabwe – ssewanyana yamututte Masuliita ne Ssegiriinya n’emuleka e mengo nakakano gye bakyali.

 Kinajjukirwa nti kooti enkulu ey’e masaka bano bombi yabayimbudde ku kakalu ka kooti ka bukadde 20 buli omu , wabula okubayimbula e kigo ne kufuuka kwa kagumba weegoge olw’ebiwandiiko ebyabadeko ensobi, kyoka nebwebyatereezeddwa abakulu mu kkomera e kigo babuulide banamateeka nti abantu baabwe baayimbuddwa dda era nga bamu maka gaabwe balata.

Kati Lukwago atubuulidde nti bakyafuba okutuuka ku babaka bano, bakole nentekateeke ezibatwala mu malwaliro bafune obujanabi naddala omubaka Allan ssewanyana abadde omugonvu.