Amawulire

Ababaka kuludda oluvuganya bagala Mubaka munabwe ayimbulwe

Ababaka kuludda oluvuganya bagala Mubaka munabwe ayimbulwe

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Aboludda oluvugnya mu palamenti basabye okunonyereza ku byakwasisa mubaka munabwe owa Kassanda South Frank Kabuye, kukolebwe mangu asobole okuyimbulwa.

Ono yakwatibwa ku lwakutaano lwa ssabiiti ewedde nagalibwa ku poliisi ya CPS mu kampala, ku bigambmbibwa nti alina kyamanyi kunfa yomuyizi wa UCU Michael Betungura eyattibwa ku lunaku lwa kampeyini olusembayo eza bayizi ba Makerere University.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku palamenti, omwogezi wa boludda oluvuganya era nga ye mubaka wa Mityana district omukyala, Joyce Bagala, agambye nti bagala okumanya emisango egivunanyizibwa omubaka munabwe.

Ate omubaka wa Ntenjeru South, Patrick Nsanja Kayongo asabye gavt okuteeka ekitiibwa mu ssemateeka kuba bukya omubaka Kabuye, akwatibwa essaawa 48 zaalina okumala mu nkomyo zaweddeko nga tatwaliddwa mu kkooti.