Amawulire

Ababaka ku ludda oluvuganya bazeemu okwekandaga ne bafuluma palamenti

Ababaka ku ludda oluvuganya bazeemu okwekandaga ne bafuluma palamenti

Ivan Ssenabulya

October 18th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya bazzeemu okwekandaga ne bafuluma olutuula olwaleero nga bawakanya olw’okuyiwa abasirikale abangi ku palamenti n’eky’obutakkiriza kulaga katambi akalaga okutyoboola eddembe ly’obuntu okukolebwa ebitongole by’ebyokwerinda.

Bano nga bakulembeddwamu omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, Mathias Mpuuga, bategezezza nti kisingako obutagenda kuteesa okutuusa nga gavumenti etangaazizza ku nsonga zonna ez’okutyoboola eddembe ly’obuntu ezikolebwa naddala ku bakulembeze b’oludda oluvuganya.

Akkaatirizza nti okutuusa nga minisita w’ensonga z’omunda azze mu palamenti okunnyonnyola ku bulumbaganyi obwakoleddwa ku ofiisi z’ekibiina kya National Unity Platform gyebuvuddeko ekyavaako abamu ku bakulembeze n’abawagizi b’ekibiina okukwatibwa sibakudda mu palamenti.

Mpuuga era yeekalakaasa olw’omumyuka wa sipiika okusaba ababaka abatava ku ludda oluvuganya batuule ku ludda oluvuganya.

Mungeri yeemu agambye nti waliwo ababaka ba palamenti abamu abatuula ku ludda lwa bavuganya mu palamenti nga tasobola kubalirira enneeyisa yaabwe era bongera okusajjuka embeera