Amawulire

Ababaka ku ludda oluvuganya banenya Museveni olw’okulemerwa okuweereza Bannauganda

Ababaka ku ludda oluvuganya banenya Museveni olw’okulemerwa okuweereza Bannauganda

Ivan Ssenabulya

June 7th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Nga bannauganda balindiridde okwogera kw’omukulembeze w’eggwanga akawungeezi ka leero, abamu ku babaka ba palamenti abali ku ludda oluvuganya, banenyeza pulezidenti Museveni, olwembeera y’eby’okwerinda ne by’enfuna mu ggwanga etali nnungi songa tewali kyakozeewo.

Omubaka wa Nansana municipaali, Wakayima Musoke ayagala omukulembeze weggwanga leero aveeyo ne ky’okudamu ku bizibu byonna ebiruma bannauganda.

Ate ye owa Kyadondo East Muwada Nkunyingi awadde abavufganya amagezi obutetaba mu kwogera kwa Museveni, kubanga ebizibu ebiruma bannansi bye bazze bamugamba okuva e mabega tewali kyeyali anogedde eddagala.

Ebyo nga biri bityo ne bannauganda basuubira omukulembeze weggwanga okwogera ku miwendo gy’ebintu egyekanamye.

Abogeddeko ne radio eno, bagala era Museveni abatangaze ku mbeera y’e by’okwerinda nga bweyimiridde mu ggwanga n’o buli bwenguzi obwafuuka kalemera mu gavumenti okuva mu 1986 kweyajja mu buyinza.

Museveni abantu bagala ayogere ne kubbula lye mirimu eririwo munsi, ebisuubizo byazze akola ebitatukirira ne birala.

Okwogerakwe kugenda ku beera ku kisaawe e Kololo ku saawa munaana, mu kuggulawo olutuula olwokusatu olwa palamenti eyomulundi ogwe 11