Amawulire

Ababaka bongedde okulumba Oguttu- UPC emuwolerezza

Ali Mivule

August 13th, 2014

No comments

Wafu

Ababaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga bongedde akazito ku akulira abavuganya mu palamenti okwogera ababaka abalidde ensimbi za gavumenti

Wafula Oguttu yategeezezza nga bwewaliwo ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti abawerera ddala18 abaafunye obukadde 110 okusasula amabanja gebazze balya ku lwaabwe.

Omubaka akiikirira abantu be Ajuri Denis Hamson Obua agamba nti Oguttu awewudde palamenti era nga alina okunyonyola

Bano nno okuva mu mbeera nga Wafula yeeremye dda nga bw’atagenda kwatuula muntu yenna kubanga bamulagidde nga wakukikolera ku budde bwe

Bbo nno aba UPC bagamba nti Oguttu yeetaga kuyambako okulwanyisa enguzi mu kifo ky’okulumbibwa

Amyuka akulira ekibiina kino Joseph Bbosa agamba nti kituufu waliwo abalya mu lulime n’oluzise ng’ate befuula abavuganya ekirina okukoma.