Amawulire

Ababaka beyawuddemu kubyekisinde kya Besigye ‘PFT’

Ababaka beyawuddemu kubyekisinde kya Besigye ‘PFT’

Ivan Ssenabulya

October 10th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Abamu ku babaka ba palamenti, betemyemu ku nsonga zekisinde ekippya ekyatondeddwawo Dr Kiiza Besigye kyebatuumye “People’s Front for Transition” (PFT).

Ekisnde kino kyazze nomulamwa gwokununula egwanga, bagamba nokujjako pulezidenti Museveni ngomwaka 2026 tegunatuuka.

Kati akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti, omubaka wa Nyendo–Mukungwe Mathias Mpuuga agambye nti bagenda kusooka kwetegereza bulungi ebigendererwa byekisnde kino, balyoke basalewo oba oli awo okukyegattako.

Namapala wababaka ba DO, omubaka we Toochi Peter Okot, agambye nti kunaaba kubugutana okukyegattako nga tebanaba kusooka kwetegereza birubirirrwa byakyo.

Omubaka wa Mukono North Kiwanuka Abdallah agambye nti mwetegefu okukoagana nabo, kubanga ekigendererwa kyekimu kujjako gavumenti ya pulezidenti Museveni.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *