Amawulire

Ababaka bewunyiza okulaba nti Bamuturaki talina bisanyizo

Ababaka bewunyiza okulaba nti Bamuturaki talina bisanyizo

Ivan Ssenabulya

August 17th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ababaka ku kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku bitongole bya gavumenti bakizudde nti akulira kkampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines Jenifer Bamunturaki talina bisaanyizo kutuula mu kifo kino.

Akakiiko akakulirwa omubaka wa Nakawa West Joel Ssenyonyi, kakasizza nti Bamunturaki yalina bachelors diguli mu Social Work and Social Administration era nga talina bbaluwa ya post graduate eyetaagisa okutwala omulimo gwaliko kati.

Bino byazuuliddwa nga abakulu okuva mu kampuni y’ennyonyi eya Uganda Airlines bazze eri akakiiko okwanukula ebibuuzo ebyabuuziddwa mu lipoota y’omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka gw’ebyensimbi 2020/2021.

Okusinziira ku bbaluwa ekwata ku byafaayo bya Bamuturaki eleetebwa mu palamenti, eraze nti omukyala ono okusinga abadde aweereza mu bifo nga wooteeri ne mu kitongole ekiddukanya ebyentambula yennyonyi.

Byte: MPs query

Mu kwewozaako, Bamuturaki agamba nti alina ebisaanyizo ebisukka ku mulimu guno era nga mu kiseera kino asoma diguli eyookubiri mu by’emirimu gya Gavumenti ku yunivasite e Makerere.