Amawulire

Ababaka beewunyiza olwa Gavt okukkiriza ekivvulu kya Nyege Nyege

Ababaka beewunyiza olwa Gavt okukkiriza ekivvulu kya Nyege Nyege

Ivan Ssenabulya

September 7th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa ne Benjamin Jumbe,

Ababaka ba palamenti beebuziza ekyabagudde gavumenti okukkiriza ekivvulu kya Nyege Nyege ekyabadde kiyimirizibwa ekigenda okubeera e Jinja mu wiiki ejja.

Enkya ya leero Ssaabaminisita Robinah Nabbanja atuuzizza olukiiko ne baminisita okuva mu minisitule y’ebyobulambuzi, eyekikula ky’abantu, ekola kunsanga ezomunda ne z’ebweru weggwanga nga kwogase eyokulungamya eggwanga ne bakkiriziganya nti omukolo gugenda mu maaso nga bwe gwategekebwa kyokka nga gugoberera ebiragiro ebikakali.

Okuva olwo Nabbanja ategeezezza bannamawulire nti bakkiriziganya nti ebiragiro bino byakukolebwa minisitule y’empisa n’obuntu bulamu wamu neyokulungamya nga bali wamu n’abategesi.

Wabula omubaka omukyala ow’e Tororo Sarah Opendi eyaleese ekiteeso kino eggulo abuuzizza oba gavumenti erowooza ku nsonga y’ebyobulamu nga mu kwetegekera ekivvulu kino ng’obulwadde bwa Monkey pox bwegiriisa mu mawanga ge bweru.

Ababaka balemedeko bagamba nti ekivvulu kino kitumbula obugwenyufu.

Mungeri yemu , Olukiiko olutaba enzikkiriza olwa Interreligious council of Uganda lwogedde ku ky’okukkiriza ekivvulu kya Nyege nyege.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire oluvanyuma lwensisikano gyebabaddemu nábakulembeze okuva mu kibiina kya ANT, omu kubalu mu lukiiko luno era nga ye mumyuka owookubiri owa Mufti supreme mufti wa Uganda, Ali Waiswa, agamba nti ekivvulu kino tekyandikkirizibwa kubeerawo kuba kirimu ebikolwa ebyobugwenyufu bingi.

Agamba nti okugoberera ebiragiro ebiteekeddwawo kikyinza okuba ekizibu okutukiriza eri abategesi ba Nyege nyege.