Amawulire

Ababaka beemulugunyiza kunsimbi entono ezateereddwa mu byénjigiriza

Ababaka beemulugunyiza kunsimbi entono ezateereddwa mu byénjigiriza

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abamu ku babaka ba palamenti beemulugunyiza kunsimbi entono ezatekebwa mu byenjigiriza bye ggwanga lino mu mbalirira yomwaka gwe byensimbi ogujja.

Bano bagamba nti yadde nga ku mulundi guno ebyenjigiriza byayongeddwa ensimbi okuva ku butabalika 5.2 okudda ku butabalika 5 nobuwumbi 500, ebintu ebyénkizo tebyaweereddwa nsimbi.

Sentebe wa kakiiko ka palamenti akavunanyizibwa ku byenjigiriza, era nga ye mubaka wa Bunyaruguru county, John Twesigye, atubuulidde nti baali bagala ensimbi eziwera ziteekebwe mu byenjigiriza naddala mu kudaabiriza samasomero ga gavumenti, agaayononeka mu muggalo gwa covid-19, okwongera kunsimbi gavumenti zesasulira buli muyizi mu nkola ya bonna basome tekyasobose kuba minisitule ye byensimbi ya bategeeza nga bwetalina nsimbi.

Ono agamba nti ensimbi ezayongebwa minisitule zakusasula misaala gya basomesa basayansi wabula nga si bakupowa bakusigala batunuza gavumenti munsonga eno.