Amawulire

Ababaka beekandaze ne bafuluma palamenti kuby’okukwata banabwe

Ababaka beekandaze ne bafuluma palamenti kuby’okukwata banabwe

Ivan Ssenabulya

September 28th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ababaka ba palamenti abali kuludda oluvuganya beekandaze ne bafuluma olutuula lwa leero nga abawakanya okukwatibwa kwababaka banabwe ababiri.

Ababaka bano nga bakulembedwamu akulira oludda oluvuganya mu palamenti Mathias Mpuuga tebanyonyose nebyogeddwa ssabaminisita Robinah Nabanja, ku byokudamu okukwata omubaka wa Kawempe North Muhamad Ssegirinya nowa Makindye West Allan Ssewanyana.

Nabbanja asuubiza okukwasaganya ababaka okuva ku njuyi zombie balabe ekidako.

Wabula omukubiriza wa palamenti awaliriziddwa okusazaamu olutuula lwaleero okutuusa enkya olwa bavuganya okuba nga babadde babuse olutuula luno.

Mu kusooka Jacob Oulanya yayimiriza olutuula okumala eddakiika 15 nga ayagala nnampala wa gavt aleete minisita owensonga ezomunda mu ggwanga Kahinda Otafiire atangaze ku kyokudamu okukwata ababaka bano.

Kino kidiridde ababaka okuli Mathius Mpuuga, Ibrahim Ssemujju Nganda ne Theodore Ssekikubo okwemulugunya ku byokukwata ababaka.

Wano Oulanya wasinzidde nasaba oludda lwa gavt lunyonyole ku bya babaka bano oba si ekyo palamenti si byakutuula