Amawulire

Ababaka bawakanyiza ekyókuteeka omuggalo ku Kampala

Ababaka bawakanyiza ekyókuteeka omuggalo ku Kampala

Ivan Ssenabulya

October 27th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abamu ku babaka ba palamenti bawakanya ekiteeso kya pulezidenti w’ekibiina ekigatta badokita mu ggwanga ekya Uganda Medical Association eky’okuteeka Kampala ku muggalo ng’ekigendererwa eky’okutangira ekirwadde kya Ebola okusaasaana.

Ku ntandikwa ya wiiki eno, bwe yabadde alabiseeko ku pulogulaamu ya KFM eya Hot Seat, Dr Sam Oledo yawadde ekirowoozo ky’okuggala ekibuga kampala nga bwe kyakolebwa ku disitulikiti y’e Kasanda ne Mubende

Wabula ababaka bawadde gavumenti amagezi okukola okumanyisa abantu kyebalina okukola okwewala okufuna ekirwadde kye Ebola nga bagoberera ebiragiro bya minisitule nga bagamba nti omuggalo gwakukosa nnyo ebyenfuna engeri gyekiri nti Kampala kifo kya bizinensi.

Omubaka wa Nakawa East, Ronald Balimwezo agamba nti wandibaddewo kaweefube ow’okukolagana okukomya okusaasaana kwa Ebola nga bayingizaamu ebibiina ebitali bya Gavumenti okumanyisa abantu ku ngeri akawuka ka Ebola gye kasiigibwamu n’engeri gye kayinza okuziyizibwamu.

Mungeri y’emu omubaka wa bakozi mu palamenti Abdulhu Byakatonda, agamba nti omuggalo omulala gwakwongera okulumya bizinensi ezitannaba kudda engulu okuva mu kirwadde kya Covid-19.