Amawulire

Ababaka batabuse olwo’butawereza bantu abatalina ndaga muntu

Ivan Ssenabulya

May 22nd, 2018

No comments

Bya Kyeyune Moses

Omubaka wa Bugabula South Henry  Kibalya akayukidde gavumenti enyonyole ku kyasaliddwawo nti atalina ndaga muntu ssi wakuweebwa buwereza bwa gavumenti obwenjawulo.

Omubaka asinzidde ku byafulumidde mu lupapula lwa Daily Monitor olwaleero, ebyalaze nti waliwo opkutya absinga bandirekebwa ebbali mu okufuna obuwereza.

Wabuila mu kwanukula Minister omubeezi owensonga zomunda mu gwanga Obiga Kania ayambalidde ebitongole bya gavumenti ebimu byagamba nti birina ekigenererwa okubiiya ministry ye.

Bino webijidde nga kigwmabibwa nti ministry yebyobulamu yagaanye okujanjaba abalwadde abamu abatalina ndaga muntu ababaka kyebawakanya.

Obiga agambye nti kino kikyamu era kigwana kikome kubanga abamu kubann-Uganda tebanaweebwa ndaga muntu zaabwe.