Amawulire
Ababaka batabukidde aba KCCA
Bya Damalie Mukhaye ne Kyeyune Moses
Ababaka ba palamenti abatuula aku kakaiiko ka PAC, akalondoola ensasanya yensimbi zomuwi womusolo bavudde mu mbeera, oluvanayuma lwomuwandiisi owenkalakkalira mu ssiga eddamuzi Kagole Kivumbi obutalabikakao gyebali, nga bwabadde asubirwa.
Akakiiko kano akakubirizibwa omubaka wa Budadiri West Nathan Nandala Mafabi, olunnaku lwe ggulo kaayongezaayo olutuula lwako ono bweyalemereddwa, okunyonyola kungeri gyebasasanyamu obuwumbi 34.
Wabula aomubaka Nandala Mafabi yayise nakulira ba mbega ba poliisi Grace Akulo, okubaawo mu lutuula lwa leero, wabula aono bakanyizza kumulinda aolwaleero nga talabikako.
Kati ababaka okubadde owa Kalungu West Joseph G. Sewungu nomubaka omukyala owa district ye Adjumani Jesca Ababiku bawabaudde, ono bamauyiseeko ekibaluwa akwatibwe wonna webanamusanga.
Ate ababaka abatuula ku kakiiko ka COSASE akalondoola emirmu mu bitongole bya gavumenti kakubye ebituli mu buyigirize bwa Moses Atwiine, akulira ebyokutekeratekera ekibuga mu kitongole kya KCCA.
Ono agambye nti alina diploma ere gyeyeyambisa, okuddayo okusoma nafuna masters mu gwanga lya Germany.
Kati kino kyekitakudde ababaka, abatuula ku kakiiko kano nga kakubirizibwa ssentebbe waako Mubarak Munyagwa, okubuuza lwaki teyasooka kusoma degree.
Ababaka bagambye nti ddala ono yaweebw aomuliu nga talina na bumanyirivu.
Kati ekitongole kya palamenti ekinonyereza, kiragiddwa okuzuula engero ono gyeyakakasibwamu nomukulembeze we gwanga ku kifo ekyo.
Abakulu okuva mu kitongole kya KCCA olwaleero balabiseeko mu kakiiko ka COSASE okwanukula ku kwemulugunya okwalabikira mu alipoota ya ssababalirizi webitabo bya gavumenti eya 2016/17.