Amawulire

Ababaka basabye wabeewo ekikolebwa ku batyoboola eddembe ly’abaana

Ababaka basabye wabeewo ekikolebwa ku batyoboola eddembe ly’abaana

Ivan Ssenabulya

June 16th, 2019

No comments

Bya Juliet Nalwoga, Nga uganda yegase kunsi yonna okukuza olunaku lw’omwana w’omudugavu, ababaka ba palamenti basabye bannauganda baloope abo abatulugunya abaana eri ab’obuyinza.

Sentebe w’akakiiko ka palamenti akakola ku ddembe ly’abaana Bernard Atiku agamba nti bannauganda tebamanyi mateeka ku ddembe lya baana y’ensonga lwaki abo abalinyiirira eddembe lyabwe balekebwa bayinayina.

Atiku mu 2015 yakulemberamu kawefube owokukola ennongosereza mu bbago ry’etteeka lya baana eryayisibwa 2016.

Mu tteeka lino tekikkirizibwa kukozesa baana mirimu gyamaanyi nokubawa ebibonerezo ebikakali

Emikolo emikulu egy’okukuza olunaku lw’omwana w’omudugavu gyakukuzibwa mu district ye omoro wansi w’om’ulamwa ogugamba nti eddembe lya baana weriri