Amawulire

Ababaka balayidde okutwala KCCA mu kooti

Ababaka balayidde okutwala KCCA mu kooti

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abamu ku babaka ba palamenti mu Kampala balyidde nti bagenda kuddukira mu kooti, okuawabira gavumenti nekitongole kya KCCA ku nsonga za paaka enkadde.

Bano bemulugunya lwaki gavumenti yasasanya obuwumbi ousoba mu 10 okudabiriza paaka, ate gyemanyi obulungi nti yagiwaayo mu mikono gyabantu ssekinoomu era tebalina bwanananyini.

Wetwogerera nga waliwo siteegi 12 zaakoseddwa, abagambibwa okubeera bannayini poloti mu paaka bwebazze nebatandika okulamba ebifo byabwe nensalo.

Omubaka wa Rubaga North Abubaker Kawalya awakanyizza ebikolwa bino, agambye nti bagenda kwekungaanya baddukire mu kooti yenalamula.

Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba yategezezza aba Daily Monitor nti bali mu ntekateeka okusasaula abagagga abaali bafunye poloti mu paaka, ngekiragiro kyomukulembeze wegwanga bwekyali.