Amawulire

Ababaka bakusisinkana Presidenti Museveni

Ivan Ssenabulya

December 26th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ababaka okuva mu kibiina kya NRM abalonda okwawukana ku kusalawo kwekibiina, ku nsonga yokujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga bagamba betegese okusisinkana ssentebbe wekibiina, kavuna banayitibwa.

Kino kidiridde olukiiko olwabaddewo wiiki ewedde, nga kigambibwa nti basazeewo President Museveni okusisnkana ababaka bano, okuwayaamu.

Bwabadde ayogerako naffe, omu ku babaka bano Dr Sam Lyomoki agambye nti tebajja kutisibwatisibwa betegefu okumusisinkana.

Lyomoki agamba nti nokutuusa kati akyakkiriza nti ekyasalibwawo okutaganjula ssemateeka, kyali kikyamu.

Wabula omumyuka wakabondo kababaka ba NRM Solomon Silwany agamba nti babaka abalonda, okwawukana nekibiinabyekyali kikanyizzaako, bakubakwasissa empisa.