Amawulire

Ababaka bagobye okusaba kwa minisitule yé by’entambula

Ababaka bagobye okusaba kwa minisitule yé by’entambula

Ivan Ssenabulya

March 2nd, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka ba palamenti ku kakiiko ka bajeti bagaanye ekiteeso kya minisitule y’emirimu ne byentambula neyékikula ky’abantu okubawa ensimbi ezisoba mu buwumbi 6Bn baziteeke mu mirimu gy’okuzimba n’okuddaabiriza ebiggwa bya bajjuzi e Namugongo nókuzimba nokudabiriza enguudo.

Mu biwandiiko ebyayanjuddwa mu kakiiko kano, Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’ensimbi Henry Musasizi, yalaze okusaba wansi wa minisitule y’emirimu n’entambula obuwumbi 3.488 okumaliriza emirimu egikolebwa mu kiggwa kya bajjulizi oludda olwa bakatoliki.

Ono era alangiridde okusaba okulala okwobuwumbi 2.590 okuva mu minisitule y’ekikula ky’abantu, abakozi, n’enkulaakulana y’embeera zabwe okuddaabiriza omuzikiti gwa Gadafi oguli e Kampala mukadde.

Omubaka wa Maruzi County, Maxwell Akora agamba nti akawayiro akali mu tteeka erifuga ensimbi za gavumenti eryayisibwa mu 2015 akakkiriza Gavumenti okusaasaanya ebitundu 3% ku mbalirira nga palamenti tennagiyisa kawadde olukusa Minisitule okuzannyira munsimbi zomuwi womusolo mu kutyoboola obuyinza bwa palamenti ku nsonga eziteeseddwako ne zigaanibwa.

Ababaka bano era bbalaze obweraliikirivu olwa kawumbi 1 n’obukadde 653 obwetaagisa ekitongole ekiramuzi okunyweza ebyokwerinda bya balamuzi oluvanyuma lwa bamu okutiisitiisibwa okwagala okubatta n’obuwumbi obulala busatu n’obukadde 50 obw’okugula emmotoka z’ebyokwerinda bya abalamuzi.