Amawulire

Ababaka bagala tteeka eribonereza abeesenza mu Ntobazi

Ababaka bagala tteeka eribonereza abeesenza mu Ntobazi

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2022

No comments

Bya Author Wadero ne Prossy Kisakye,

Ababaka ku kakiiko ka Palamenti akakola ku nkyukakyuka y’obudde bali mu kutegeka etteeka erigenda okubonereza abaserikale ba gavumenti abagaba obutereevu olukusa lw’okukola emirimu mu ntobazi.

Ababaka beeraliikirivu olwempisa eya bakungu ba gavt okuwa pamiti abantu buli lukedde ezibakkiriza okwesenza mu ntobazi ekivirideko enkyukakyuka mu mbera yobudde.

Kino kijjidde mu kiseera nga govt ewadde bamusigansimbi olukusa okukolera mu ntobazzi.

Ku Lwokusatu lwa wiiki eno, minisita w’ebyensimbi yategeezezza nti gavumenti egenda kukkiriza bamusigansimbi okukola mu ntobazzi, ekintu ekyavirideko bannauganda okwogera obwama.

Ababaka bawa ensonga nti embeera eno elemesa wabalwanirira obutonde bw’ensi

Bwabadde ayogera eri bannamawulire ku palamenti, Omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kiboga Christine Kaaya Nakimwero asabye gavumenti eyanjulire palamenti alipoota ku ngeri emirimu egigenda mu maaso mu ntobazi bwegyakkirizibwamu.