Amawulire

Ababaka bagala Omuggaga Ham agibweko kotulakiti eyókudabiriza ekisaawe kya Nakivubo

Ababaka bagala Omuggaga Ham agibweko kotulakiti eyókudabiriza ekisaawe kya Nakivubo

Ivan Ssenabulya

August 5th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abamu kubabaka ba palamenti Bagala omuggaga Hamis Kiggundu aka Ham agibweko omulimu ogwokudabiriza ekisaawe kya Nakivubo nga bagamba nti agukutte kasoobo.

Okusinzira ku mubaka wa Ntungamo Municipality Yona Musinguzi, wetutukidde olwaleero nga kiggundu yakakolako ebitundu 30% bukya mulimo gwamukwasibwa.

Kati ayagala Ham agibweko kotulakiti bagiwe omuntu omulala anasobola okusambyako ekisaawe kigwe kitandike okukozesebwa bannabyamizannyo.

Era asabye minisitule eye byenjigiriza ne byemizannyo okutangaza palamenti ku bikwata ku kisaaw kino.

Ate ye omubaka wa Bukoli central Solomon Silwany naye agamba nti bwaba Ham alemeredwa omulimo ogwamuweebwa gavt esanye okunonya omuntu omulala omuli guutambule.