Amawulire

Ababaka bagala etteeka ku byóbusika liteekebwe munnimi ennansi

Ababaka bagala etteeka ku byóbusika liteekebwe munnimi ennansi

Ivan Ssenabulya

May 12th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abamu ku babaka ba palamenti bagala etteeka erikwata ku byóbusika likyusibwe mu nnimi ennansi bannauganda basobole okulitegeera obulungi.

Olunaku lweggulo omukulembeze weggwanga Museveni yatadde omukono ku tteeka erikwata ku byobusika erya Succession Amendment Act eryayisibwa mu palamenti eye 11.

Obukulu bwe tteeka lino liwa olukusa abakyala okugabana ku byobugagga byomugenzi nábaana abazaalibwa ebbali

Omubaka we Kumi Municipaali, Silas Aogon asabye gavumenti okuteekawo ensimbi ziyambeko mu kukyusa etteeka lino mu nnimi ennansi.

Ate ye ssentebe we kibina omwegatira ababaka ba palamenti abakyala ki Uganda Women Parliamentary Association eranga ye mubaka omukyala owa Tororo Sarah Opendi, agambye nti mutteeka ekadde libadde litunulira baana bokka abazaalibwa mu bufumbo obutukuvu mu kugabana emmali yomugenzi ate abebbali ne batafiibwako.

Wabula mu tteeka eppya kati abaana abebbali bakugabananga ku mmali ya kitaabwe kyenkanyi nabomumaka.

Kati asabye minisitule eye kikula kya bantu ne yebyamawulire okusomesa banauganda kuteeka lino balimanye.