Amawulire

Ababaka bagala ensimbi mu nzijanjaba y’abalina obuzibu ku bwongo

Ababaka bagala ensimbi mu nzijanjaba y’abalina obuzibu ku bwongo

Ivan Ssenabulya

October 25th, 2023

No comments

Bya Moses Ndaye,

Ababaka ba Palamenti abatuula ku kakiiko akavunanyizibwa ku banu abalina obuzibu ku bwongo, basabye gavumenti eyongere ku nsimbi eziweebwayo okukola ku nsonga z’endwadde z’obwongo mu ggwanga.

Omwogezi wa kakiiko kano, Chris Komakech agamba nti mu mbalirira eyaakafuluma gavumenti yasobodde okugaba ebitundu 1% byokka ku mbalirira yonna okusobola okwanguyiza okujjanjaba endwadde z’obwongo era n’okuddukanya emirimu gy’ekitongole kino.

Agamba nti ensimbi zino ntono nyo bwogerageranya nómulimo ogulina okukolebwa.

Ebibalo okuva mu minisitule eye byobulamu biraga nti bannauganda obukadde 14 balina endwadde zóbwongo

Ekitegeeza nti ku buli bantu 100 bosisinkana kubaako 35 abatabufu bémitwe oba olyawo nga tebamanyi.