Amawulire

Ababaka bagala ebifo ebilongosebwamu abalwadde bitandike okukola

Ababaka bagala ebifo ebilongosebwamu abalwadde bitandike okukola

Ivan Ssenabulya

November 8th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka ba Palamenti abali ku kakiiko k’ebyobulamu bagala ebifo ebilongoosebwamu abalwadde mu malwaliro mu kitundu ky’e Kigezi bitandike okukola.

Ababaka bano nga abakulembeddwamu Nicholas Kamara bali mu kitundu kino okwekenneenya embeera y’okutuusa empeereza y’ebyobulamu mu malwaliro n’ebifo eby’obulamu.

Nga bali mu ddwaaliro lya Busanza Health Centre IV e Kisoro, ababaka bategedde nti ekifo kino kimaze emyaka egisoba mu 10 nga kikola nga tekirina siyeeta.

Jackline Kyokunzire, nnansi mu ddwaaliro lino agamba nti minisitule y’ebyobulamu yabasuubiza okuzimba siyeeta empya wabula nokutuusa kati tebagirabanga.

Bwe baabadde mu ddwaaliro ekkulu e Kisoro, ababaka bano baasanze ekifo we balongooseza nga temuli kantu nga kiriko enjatika nga nakasolya kagudde ebituli, balagidde ekizimbe kigibwewo nga tekinatta basawo na balwadde

Ye omubaka George Didi Bhoka awadde gavumenti z’ebitundu amagezi okukulembeza ekyokulaba nti balina siyeta ezomulembe kikendeeze ku muwendo gwa balwadde abaddukira mu malwaliro amanene okufuna empereeza eno.

Akakiiko era kasuubirwa okukola okulambula okulala okw’okulondoola mu Disitulikiti y’e Kabale olwaleero