Amawulire

Ababaka bagala abatuuze abali munjala baweebwe emitwalo 10 buli maka

Ababaka bagala abatuuze abali munjala baweebwe emitwalo 10 buli maka

Ivan Ssenabulya

July 28th, 2022

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko aka social protection baagala gavumenti ewe emitwalo 10 buli maka agakoseddwa enjala e Karamoja

N’okutuusa kati abantu abasoba mu 900 be bafudde enjala e Karamoja, ekyawalirizza gavumenti na bagabi bobuyambi okwanukula amangu nga basindika obuyambi bw’emmere mu kitundu kino.

Bwabadde ayogerera mu lukung’aana lwa bannamawulire ku palamenti, ssentebe w’olukiiko, era omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kyegegwa Flavia Kabahenda, agambye nti ensimbi enkalu zigenda kusobozesa amaka okugulayo ekika kye mmere endala okugata ku buyambi bwebaze bafuna.

Era asabye gavumenti ekozese embeera ye Karamoja okutandika okunoonyereza okuzuula oba ebitundu by’eggwanga ebirala byolekedde okusoomoozebwa okufaananako bwe kutyo.