Amawulire

Ababaka bagaanye okusisinkana omukulembeze we gwanga

Ivan Ssenabulya

December 5th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Ababaka abawakanya ekyokukola ennongosererza mu ssemateeka, okujja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga, abesambye ensisinkano yomukulembeze we gwanga essubirwa akwungeezi kano.

Akaiiko ka palamenti akamteeka akawungeezi kano kasubirwa okusisinkana pesidenti Museveni mu maka gobwa presidenti Entebbe, wakati mu kufuna endowooza zabantu mu kyekaliko okwekennenya ebbago eryayanjulwa omubaka wa Igara West Raphael Magyezi.

Mu lukungaana lwabanamawulire lwebatuzizza abamu kubabaka abatuula ku kakiiko kano, owa munispaali eye Masaka Mathias Mpuuga ne Medard Segona bemau ku bagaanye.

Mu lutuula luno olwetabiddwamu omubaka we Lwemiyaga Theodore Sekikuubo, bano bawakanya engeri gyekyatukiddwako okusisnkana presidenti Museveni.