Amawulire

Ababaka babavubuka babakubiriza okuba abayiiya begye mu bwavu

Ababaka babavubuka babakubiriza okuba abayiiya begye mu bwavu

Ivan Ssenabulya

September 1st, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka babavubuka mu parliament bawanjagidde abavubuka okukomya okutunulira emirimu gya government wabula batandiike okulowooza ku kutondawo emirimu egyaabwe eginabasobozesa okufuna sente ezibayimirizaawo.

Ababaka bano okubadde Nyamutooro Fiona nga ye mubaka omukyaala akikirira abavubuka ne Kirabi Agness obubaka akikirira abavubuka mu Buganda nga bano babadde ku kitebe kya district ye Wakiso mukulayiza obukulembeze bwabavubuka obugya bategezeza nga abavubuka bwebalina okukyusa endowooza gye balina.

Nyamutooro agambye nti ekizibu ekiri mugwanga kyamirimu nga abavubuka bangi tebalina mirimu nga nabalina emirimu basasulwa bubi.

Ye omubaka Kirabo agambye nti amakolero agasomesa abavubuka gakyaali matono nga getagisa okuyamba abavubuka okusobola okuyiga emirimu gyomumutwe.

Abadde ssentebe wabavubuka mu district ye Wakiso Andrew Kiryowa asabye government okwongera kusente zewa abavubuka okusobola okuddukanya emirimu wamu nokulondoola.

Ssentebe Omulonde owabavubuka mu district ye Wakiso Iddi Matovu alabudde abavubuka abatwala sente nebalema okuzikomyawo nga bwebagenda okubanonya babakwate basobole okukomyawo sente.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *