Amawulire
Ababaka b’abakozi batiisizza okugenda mu kkooti
Bbo ababaka b’abakozi batiisizza okugenda mu kkooti singa gavumenti tebawa nsimbi zitegeka kulonda kwabwe.
Kino kiddiridde minisita w’ekikula ky’abantu Muruli Mukasa okulangirira akawungeezi akayise nti gavumenti terina nsimbi zitegeka kalulu kano.
Kati ababaka b’abakozi okuli Arinaitwe Rwakajara ne Teopista Nabulya bagamba singa tebalonda bakiise b’abakozi palamenti ye 10 ejja kuba tejudde.