Amawulire
Ababaka babajeko emmundu-Nambooze
Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze alabudde babaka banne, naddala abalina abakuumi bewala okutuluguny ate nokutta abantu.
Nambooze agambye nti emmundu ebononera, kubanga tereeta buganzi gyebali okuva mu balonzi.
Ategezezza nga bwagenda okubaako ekiwandiiko kyabaga, ababaka bajibweko emmundu kubanga nabamu bazikozesezza bubi, nekivaako nabantu abamu okufa.
Kinajjukirwa ababaka abamu bavaayo nebasaba babongere obukuumi, olwokutya nti wandibaawo abagala okubatusaako obulabe.