Amawulire

Ababaka ba palamenti bawabuddwa kubya Sipiika

Ababaka ba palamenti bawabuddwa kubya Sipiika

Ivan Ssenabulya

March 24th, 2022

No comments

Bya Prosy Kisakye ne  Sam Ssebuliba

Abavuganya gavumenti mu kibiina kya People’s Progressive Party basabye aboludda oluvuganya gavumenti mu palamneti, ku mulundi guno obutawagira ba NRM mu kulonda kwa sipiika wa palamenti nomumyuka we.

Palamenti egenda kutuula ku Lwokutaano lwa wiiki eno okujjuza ekifo kya sipiika ekyabaddemu Jacob Oulanyah, Mukamagweyajululaokuva mu bulamu bwensi mu gwanga lya America.

Bwabadde ayogera ne bannamwulire mu Kampala, omubaka wessaza lye Aruu mu palamenti atenga ye minisita ow’obwegassi mu gavumenti eyekisikirize Santa Okot agambye nti namateeka getaaga okukyusibwa, okuwa egwanga ekiseera okukungubaga.

Bano era babanja nti egwanga limanyisbwe bulungi alipoota abasawo, ku nfa yomugenzi Jacob Oulanyah.

Ate ababaka ba palamenti basabiddwa okubeera abegendereza ku sipiika wa palamenti omugya gwebagenda okulonda.

Okusaba kuno kukoleddwa munnamateeka omugundiivu Wandera Ogalo ngono yaliko omubaka mu palamenti eyomulundi ogwomukaaga, mu 1996 ngagambye nti ekifo kya sipiika kikulu nnyo ekitetaagamu muntu atali mumanyi.

Agambye nti kyetagamu, awamu omuntu omukugu mu mateka atenga asobola nokuwuliriza ebyetaago byabantu nabiwa obudde okubitesaako nokubigonjoola.

Mungeri yeemu, bannamateeka nabo bongedde okulaga obwetaavu okulongoosa mu ssemateeka wegwanga.

Okusinziira ku Peter Walubiri, waliwo enongosreza ezikoleddwa wabulanga tezikwata ku bwetaavu bwabantu nga bingi ebeytaaga okutunuliira kulwobwetaavu bwabantu biterezebwe.