Amawulire

Ababaka ba Palamenti Abakyala bagamba Bajeti eno tegenda kuyamba Bannaku

Ababaka ba Palamenti Abakyala bagamba Bajeti eno tegenda kuyamba Bannaku

Ivan Ssenabulya

June 15th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka ba palamenti abakyala wansi w’ekibiina kyabwe ekibagatta ki Uganda Women Parliamentary Association-UWOPA bagamba nti embalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja eyinza obutagasa munnauganda owa wansi.

Mukwogerako eri bannamawulire mu Kampala nga bakulembeddwamu omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Kyegegwa, Flavia Kabahenda, ababaka bano bavumirira eky’okusala ku mbalirira mu by’obulamu, omuli ensimbi eziweebwayo mu mbalirira y’ekitongole kya Uganda cancer Institute n’ekitongole kya Uganda Blood Transfusion Services.

Ategeezezza nti okusala ku mbalirira okugenda mu maaso mu by’obulamu kigenda kukosa Bannayuganda aba bulijjo naddala abakyala n’abaana abatagenda kusobola kufuna mpeereza nnungi.

Kabahenda agamba nti ng’ababaka ba Palamenti Abakyala bakkiriziganyizza okusimbira ekkuuli  mbalirira yonna ey’enyongereza enareetebwa mu palamenti singa eba terina wekwataganira ku byabulamu.

Mungeri yeemu asabye gavumenti okwongera ku nsimbi mu by’enjigiriza naddala mu masomero ga UPE ne USE ate era ekulembeze kaweefube agenderera okumalawo obutabanguko mu maka.