Amawulire

Ababaka ba NRM balayidde okuwakanya Museveni kubyakakalu ka kooti

Ababaka ba NRM balayidde okuwakanya Museveni kubyakakalu ka kooti

Ivan Ssenabulya

September 29th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Ababaka ba palamenti, abekibiina kya NRM balayidde okuwakanya entekateeka yomukulembeze wegwanga, okujjawo eddembe lyomusibe okuweebwa akakalu ka kaooti.

Pulezidenti Museveni awakanya ekyokuyimbulanga abasibe, abateberezebwa naddala mu misango eminene.

Mu nsisinkano yakabondo kekibiina eyatudde e Kololo, ababaka abwerako bategezezza ssentebbe wekibiina era omukulembeze wegwanga nti ddembe lyabwebange omusibe okuyimbulwa ku kakalu ka kooti.

Amwulire agomunda galaze engeri ababak bwebawakanyizza ekiteeso kyomukulembeze wegwanga.

Okugeza omu ku babaka, owa Bunyolo East Yusuf Memtebuli ngono munnamateeka yagambye pulezidenti Museveni nti omuntu yenna asobola okutebrezebwa okuzza omusango kalenga kinaaba kikyamu okuyisa abasibe ngabazzi bemisango atenga teginabasinga.

Omubaka we Kasambya David Kabanda agambye nti ekiteeso ekyo tajja kukiwagira.

Ssabawandiisi wakondo kababaka ba NRM Lillian Aber, nga ye mubaka omukyala owa disitulikiti ye Kitgum agambye nti ababaka balagiddwa bongere okwebuuza ku nsonga eno baakumutegeeza byebanaaba bazudde mu nnaku 14.