Amawulire

Ababaka ba NRM bakusisinkana leero kubya baminisita abatwala amabaati

Ababaka ba NRM bakusisinkana leero kubya baminisita abatwala amabaati

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ababaka ba palamenti abava mu kibiina kya NRM ekiri mu buyinza leero bakutuula okusalawo ku baminisita abalumirizibwa okwenyigira mu kwegabanya amabaati agaalina okuva mu Offisi ya Ssabaminista okuweebwa abantu be Karamoja.

Olutuula luno lwabadde lwakubeerawo lunaku lwajjo wabula ne lwongezebwayo oluvanyuma lwa pulesidenti Museveni era Sentebe w’ekibina eyabadde alina okulukubiriza okubeera n’ensisinkano endala ne ba sentebe b’ekibiina ab’ebyaalo mu disitulikiti y’e Kampala.

Olutuula luno lwayitibwa nampala wa gavumenti Hamson Obua era nga lwakubeera mu offisi ya Ssabaminista mu Kampala.