Amawulire

Ababaka ba DP baddukidde mu Kkooti ku ndagano ya Mao ne Museveni

Ababaka ba DP baddukidde mu Kkooti ku ndagano ya Mao ne Museveni

Ivan Ssenabulya

September 9th, 2022

No comments

Bya Ruth Anderah,

Abamu ku babaka ba palamenti mu kibiina kya Democratic Party ekiri kuludda oluvuganya gavumenti bawaddeyo okusaba mu kkooti ejulirwamu mu Kampala nga bawakanya endagaano eyakolebwa wakati wa Pulezidenti wa Democratic Party Norbert Mao, ku lw’ekibiina kino nómuk weggwanga Museveni.

Mu kiwandiiko ky’eyafulumya ku mukutu gwe ogwa Twitter, oluvannyuma lw’okussa omukono ku ndagaano eno, Pulezidenti Yoweri Museveni era nga ye ssentebe wa NRM yebaza aba DP okuba nti bamanyi okuzanya ebyobufuzi ebyekikulu.

Wabula okuva endagaano lwe yassibwako omukono, abamu ku bammemba b’ekibiina omuli n’abamu ku babaka ba Palamenti baawakanya ddiiru eno nga bagamba nti etunuulidde okuwagira enteekateeka za gavt mu byobukulembeze nókuyisaawo diiru za gavt mu palamenti.

Mu kwogerako ne bannamawulire oluvanyuma lwokuteekayo omusango mu kkooti, Ababaka ba Palamenti okubadde Dr Lulume Bayiga, Richard Lumu, ne Richard Ssebamala bagambye nti okusaba kuno kukwatagana n’ennyingo 137(3)(b) eya Ssemateeka wa Uganda ne Kkooti ya Ssemateeka.