Amawulire

Ababaka abavuganya gavumenti bagenda kugumba e Masaka

Ababaka abavuganya gavumenti bagenda kugumba e Masaka

Ivan Ssenabulya

August 29th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ababaka ba palamenti okuva ku ludda oluvuganya gavumenti, bali mu ntekateeka okugumba e Masaka wakati mu bunkenke obweyongedde, olwettemu erikudde ejjembe.

Eno abanti abasoba mu 20 bekattibwa mu bbanga eryomwezi gumu, mu kitundu ekyobwagagavu bwe Masak.

Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Mityana, Joyce Bagala nga ye minisita webyamwulire mu gavumenti yekisikirize agambye nti bagenda kwegatta ku banaabwe abava mu kitundu kino okusala amagezi.

Wiiki ewedde Nampala w’oludda oluvuganya gavumenti Matthias Mpuuga yasabye gavumenti eyongere ku bakuuma ddembe mu kitundu kino okusobola okuzza embeera mu nteeko.