Amawulire

Ababaka abava mu Buganda batabukidde omukulembeze wéggwanga

Ababaka abava mu Buganda batabukidde omukulembeze wéggwanga

Ivan Ssenabulya

January 4th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka ba palamenti okuva mu kitundu kya Buganda basabye Pulezidenti Museveni okuwa embalirira ku ettaka lya square miles 9000 gavumenti ly’erina nga tannalumba bwakabaka bwa Buganda ku ttaka lyayo erya 8000 square miles.

Kino kiddiridde Pulezidenti bwe yali asisinkanye bannamawulire kunkomerero y’omwaka oguwedde, okulumba Obwakabaka ku kyeyayita okugabanya ettaka lya square miles 8000 mu ngeri etali ya bwenkanya.

Wabula bwabadde ayogera eri bannamawulire ku palamenti ssentebe wa babaka ba palamenti abava mu Buganda era omubaka wa Butambala County Muhammad Muwanga Kivumbi agambye nti ebigambo bya Museveni ku ttaka lya square miles 8000 agenderera kuwugula bantu okusaba embalirira mailo 9000 gavumenti lyevunanyizibwako

Mungeri yeemu omubaka wa Mawokota South, Yusuf Nsibambi alabudde Abaganda obutatunda ttaka lyabwe bwalabudde nti okulinnyisa ebbeeyi y’ettaka kigendereddwamu kubagyako ttaka lyabwe.