Amawulire

Ababaka abava e Teso bagala amyuka Ssaabawolereza wa Gavt alekulire

Ababaka abava e Teso bagala amyuka Ssaabawolereza wa Gavt alekulire

Ivan Ssenabulya

February 28th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu,

Ababaka ba palamenti abava mu kitundu kye  Teso basabye omumyuka wa ssaabawolereza wa gavumenti Jackson Kafuuzi alekulire ku bigambibwa nti yeeyisa bubi.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu palamenti enkya ya leero, Ssentebe wa kabondo omwegatira ababaka bano, era omubaka wa Soroti West, Jonathan Ebwalu agambye nti Kafuuzi yamenya ekirayiro kye eky’obwesigwa bwe yalimba bannamawulire mu bugenderevu ku ky’okuliyirira abantu abafirizibwa ebintu byabwe na benganda zabwe mu biseera byentalo ezaali mu kitundu ekyo okutandikira ddala mu 1979.

Ebwalu agamba nti okusindiikiriza kwabwe okw’okuggya obwesige mu Kafuzi kuva ku kwegaana okujulira okwakolebwa ofiisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti mu kusala omusango gwokuliyirira abantu be Teso abaafiirwa abantu baabwe n’ebintu mu lutalo lwa Kony.

Omubaka wa Kasilo county, Elijah Okupa naye alaze obwennyamivu olw’omumyuka wa Ssaabawolereza wa Gavumenti ng’agamba nti ebigambo bye byakufiiriza gavumenti ya NRM ne Pulezidenti Museveni obuwagizi mu kitundu kino.

Wabula Gavumenti yyo egamba nti yakutukiriza obweyamo bwayo bweyakola eri abantu bano.