Amawulire

Ababaka abava e Lango batadde Gavt kunninga kunfa ya CAO

Ababaka abava e Lango batadde Gavt kunninga kunfa ya CAO

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ababaka ba palamenti abava mu kitundu kye Lango baagala waberewo okunonyereza okumatiza ku ngeri abadde akola nga CAO we Bukwo Ogwang Charles gyeyatiidwamu mu bukambwe, bwekiba kisoboka nabaakoze bakangavvulwe.

Kinajjukirwa nti musajja wattu ono Ogwang Charles yakuba amasasi ku lw’okutaano ku kyalo Kiryowa mu district ye Luweero ku lugfuudo olugatta kampala ku Gulu , ne mmotoka mweyali nekumwako omuliro

Kati akulira akakiiko akataba ababaka ba palamenti abava e Lango Judith Alyek, agambye nti newankubadde waliwo bingi eby’esitazza ebyogeddwa ku mugenzi, naye akoze mu district eziwerako nga mpaawo akukkuluma, kale enfaaye egwana kunonyerezaako ekimala

Bano ssabaminisita Robinah Nabanja abagumizza nti ensonga eno poliisi eginonyerezaako era nga akadde konna abaakikoze bajja kusimbibwa mu mbuga z’amateeka.