Amawulire

Ababaka abamu bawagidde ekya Gavt okusenza ababundabunda okuva mu Afghanstan

Ababaka abamu bawagidde ekya Gavt okusenza ababundabunda okuva mu Afghanstan

Ivan Ssenabulya

August 18th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Prossy Kisakye

Omubaka wa Bugiri county mu lukiiko lweggwanga olukulu, Asuman Basalirwa awagidde ekiteeso kya gavt okubudamya bannansi beggwanga lya Afhgan refugees mu ggwanga lino.

Kino kidiridde minisitule evunanyizibwa kunsonga zamawanga amalala okutegeeza nga gavt bwegenda okubudamya abanonyi bobudamo abawera 2000 okuva mu Afghan olwembeera eyobunkenke eri munsi yabwe.

Basalirwa okuvaayo bwati kidiridde mubaka munne owa Kilak county Gilbert Oulanya okwemulugunya kukya gavt obutasooka kwebuuza ku palamenti mu kuleeta ekiteeso kino.

Amyuka sipiika, Anita Among kati asabye minisita owensonga za mawanga amalala okweyanjula eri palamenti mu ssabiiti ejja abatangaze kunsonga eno.

Ate Ekibiina kye byobufuzi ekiri ku ludda oluvuganya gavt ekya Uganda people’s Congress (UPC) kisomoozeza gavumenti okusooka okwekenenya abanonyi bobudamo 2000 okuva mu ggwanga lya Afghanistan beyagala okuleeta kuno baleme kwegatta ne bannauganda singa baba ne kirwadde kya covid-19

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire ku yaffeesi zé kibiina mu Kampala, Faizo Muzeeyi, akulira ebyamawulire, agambye nti okubudamya ababundabunda sikirowoozo kibi wabula wakati ku bwerinde bwekirwadde ekya covid-19 ekyazinda eggwanga gavt erina okwegendereza enyo bonna ne bakeberebwa nga bakatuuka kuno.

Mungeri yemu aba UPC basabye gavt era okwegendereza okulaba nti mubajja nga abanonyi bobudamo okuva mu afghanstan temugiramu balina bissi ekiyinza okuteeka eggwanga kubunkenke.