Amawulire

Ababaka abali kuludda oluvuganya bagamba emikolo gyábazira tegikyalina makulu

Ababaka abali kuludda oluvuganya bagamba emikolo gyábazira tegikyalina makulu

Ivan Ssenabulya

June 9th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ng’eggwanga likuza olunaku lw’abazira, ababaka ba Palamenti balaze ebirowoozo ebitali bimu ku bukulu bwalwo eri Bannayuganda, abamu bagamba nti terukyalina makulu.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu palamenti, omubaka wa Mawogola North Shartsi Musherure agamba nti olunaku luno lusaana okujaguzibwa, n’asaba abakulembeze ku mitendera gyonna okukoppa abantu abakoze kinene mu nkulaakulana y’eggwanga.

Agattako nti pulezidenti Museveni emirembe gyonna ajja kuba muzira olw’okufuba okulaba nti eggwanga likulakulana mu byobufuzi n’ebyenfuna.

Kyokka abamu ku babaka abali kuludda oluvuganya gavumenti bagamba nti olunaku lwábazira terukyalina makulu yadde oluvannyuma lwa Gavumenti ya NRM okulukyusa okuva ku mukolo gw’eggwanga ne lufuuka lwa kibiina.

Omubaka wa Katikamu North, Denis Sekabira ne munne owa Bukoto Central Richard Sebamala bagamba nti abazira bangi nnyo mu ggwanga abatannaba kumanyibwa n’okutuusa kati emidaali giweebwa abo abagenda mu nsiko.

Ate Omubaka wa NRM Robert Kasolo, akikirira aba Iki-Iki County, agamba nti wadde olunaku luno lukulu okusiima obuweereza n’okwewaayo kw’abo abaafiirwa obulamu mu lutalo lwa Museveni, akakiiko akagaba emiddaali kalina okulonda n’obwegendereza abantu, nga bagamba nti abamu kubaweebwa emidaali tebasaana kugifuna.

Okukuza olunaku lw’abazira mu ggwanga kutandise mugombolola yé Butuntumula mu Disitulikiti y’e Luweero wansi w’omulamwa; “Situka Uganda, Ssaddaaka z’abazira baffe kati zibala ebibala”