Amawulire

Ababaka abakyala bawakanyisa omusolo ku pampa zábaana nábakadde

Ababaka abakyala bawakanyisa omusolo ku pampa zábaana nábakadde

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2023

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Ababaka abakyala bawakanyizza omusolo ogwakaayisibwa ku pampa za baana na bakadde nga balabula nti gugenda kukosa abakyala mu budde obw’okukola.

Omusolo omupya ogugenda okutandika okukola nga July 1st gwayisiddwa palamenti mu bbago ly’etteeka ely’omusolo erya Value Added Tax (Amendment) Bill, 2023.

Okusinziira ku gavumenti, basuubira okufuna obuwumbi bwa shs 2.6 okuva mumusolo ogunagibwa ku pampa.

Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu palamenti, omubaka wa Mityana era nga ye minisita w’ebyamawulire mu gavt eye kisiikirize Joyce Bagala agamba nti omusolo ku nnappi gugendereddwamu kwongera ku nnyingiza, songa neggwanga lyakufiirwa singa obudde bwa bamaama bw’ebalina okumala nga abakola babumala mu kwoza engoye za baana.

Era alabudde nti okusolooza omusolo ku nnappi z’abantu abakulu kijja kwongera okwonoona embeera z’obulamu bw’abakadde eziva ku nnappi ezikwatibwa obubi eziddamu okukozesebwa.

Abakyala Ababaka bwebatyo baagala diapers zibeere nga tezisoloozebwako musolo nga sanitary pads.