Amawulire

Ababade ku gw’obwakaggwa ensonyi bejeeredde

Ivan Ssenabulya

July 16th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah.

Abasajja abawerera ddala mukagaana obakwatibwa ku misango gy’okusobya ku abaana abawala abatanetuuka  bawonye ekkomera oluvanyuma lwa ssabawabi wa government Mike Chibita okubajjako emisango.

Okisinzira ku kiwandiko ekireteddwa mu kkooti enkulu mu maaso g’omulamuzi Jane Francis Abodo, abasajja bano bazza emisango mu mwaka gwa 2014 mu bifo eby’enjawulo mu Kampala wamu ne wakiso.

Akiikiridde Ssabawabi wa government , Shakira Nalwanga agamba nti abasajja bano baasobya ku baana abali wakati w’emyaka 2 ne 3 naye balemereddwa  okufuna  abajuliri  ababalumika  kubanga family z’abaana bano basenguka nebadda mu bifo ebirala ebitamanyikiddwa.