Amawulire

Ababade baguza abaana amafuta g’enyonyi bakwatiddwa.

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba.

Mu  Kampala ekutte abantu babiri  nga bano babade basuubula amafuta g’enyonyi , nga baguza abaana wano mu Kisenyi nebaganuusa.

Abakwatiddwa kuliko omusajja n’omukazi nga bano basangiddwa n’ekidomola kiramba ekya mafuta gano

Ekikwekweto ekikutte bano kikulidwamu aduumira polisi  ya Old Kampala Charles Nsaba, oluvanyuma lw’amyuka aduumira police Brigadier Muzeeyi Sabiti okulangirira ekikwekweti ku bantu bano.

Abakwatiddwa kati baggaliddwa wano ku Old Kampala polisi nga okunonyereza  bwekugenda mu maaso.