Amawulire

Ababadde bazanya matatu basse ssentebbe we kyalo

Ababadde bazanya matatu basse ssentebbe we kyalo

Ivan Ssenabulya

February 22nd, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Poliisi mu disitulikiti ye Rukiga etandise okunonyereza kungeri omusajja owemyaka 62, gyeyatiddwamu.

Omugenzi ye Frank Byarugaba ngabadde ssentebbe ku kyalo Kagorogoro mu muluka gwe Nyakasiru mu gombolola ye Bukinda.

Kigambibwa nti waliwo ekibinja kyabavubuka abamutemyetemye, okutuusa lweyasizza ogwenkomerero.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi Elly Maate agambye ntoi omugenzi aliko akabaala keyaenzeemu, okusatulula abavubuka ababadde bazannya matatatu ngomukulembeze, wabula bamuviridde mu mbeera nebatandika okumukuba nebamutemateema nebamutta.

Poliisi egamba nti yagezaako okwanguwa naye basanze amaze okutibwa, wabulanga abantu 3 bebakwatiddwa bayembeko mu kunonyereza.